Poliisi ekutte abantu 4 ku by’omwana eyasangiddwa ng’attiddwa nga omulambo gwe, gusuliddwa mu ffaamu y’obutunda ey’omulimi Abdul Katali ku kyalo Namutidde mu gombolola y’e Bulera mu disitulikiti y’e Mityana.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Nobert Ochom, omwana yabuzibwawo sabiti ewedde ku lunnaku Olwomukaaga nga 13, Janwali, 2018, era abazadde bategeeza ku Poliisi yabwe eya Mutetema mu disitulikiti y’e Mityana.

Omulambo gwasangiddwa, nga gutandiise okuvunda nga okuttu okumu gusaliddwako.

Poliisi egamba 4 abakwatiddwa amannya gasirikiddwa, basobole okunoonyereza kyoka kigambibwa nti omwana yasadaakiddwa.