Mu Uganda abaana abawala bangi nnyo batya okuzaala wadde okuvaayo mu lwatu okulaga baganzi babwe era y’emu ku nsonga lwaki bangi nnyo balwawo ku mudaala.

Embeera eyo, etukiridde ku muwala Anita Kyarimpa amanyikiddwa ennyo nga Anita Fabiola era abantu bangi nnyo omuli abawagizi be ku Face Book bamusaba okubalaga omusajja afukirira ebintu bye.

Abamu bali bagamba nti Meddie Ssentongo ye bba era mbu baludde mukwano kyoka ennaku zino bagamba nti mwana mulenzi Ed Cheune owa Rich Gang gw’ayagala.

Gye buvuddeko Ed Cheune yagulira Fabiola essaawa era abantu ne batandikirawo okugamba nti kabonero akagala nti bali mukwano.

Ku nsonga eyo, Fabiola avuddeyo n’agamba nti tayinza kwagala Ed Cheune kuba muntu wawansi nnyo ku ye era ssi “type” ye.

Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino alina omusajja era bali mu mukwano ogwanamaddala okutuusa okufa kwe, ng’abantu balina okumugyako emimwa n’okutebereza ebitaliiyo.