Omuduumizi wa Poliisi Gen Kale Kayihura ategeezezza nga omusajja eyavaayo neyerangirira nga bwakulira ababbi Paddy Serunjoogi amanyiddwa ennyo nga Ssobi bweyateereddwa, oluvanyuma lw’okusaba okwakoleddwa ekitogole ekikessi ekya The Internal Security Organisation (ISO).

Gen Kayihura agamba nti Ssobi yali mu kkomera e Luzira ku misango gy’obutemu era batekeddwa okunoonyereza engeri gye yava e Luzira.

Mungeri y’emu agambye nti fayiro y’omusango gwe tenagalwako kuba alina byatekeddwa okunyonyola Poliisi.

Ssobi ne banne babiri okuli Shafiq Kisozi and Tim Twaha bakwatibwa ku Rose Garden Hotel e Kyengera ku Mmande akawungeenzi ne batwalibwa ku Poliisi Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso oluvanyuma ne batwalibwa mu kaduukulu ka Poliisi e Nalufenya kyoka bayimbuddwa ku lunnaku olwokubiri akawungeenzi.