Kyaddaki omuyimbi Chris Evans Kaweesi avuddeyo ku bayimbi abasukiridde okukoopa ennyimba mu ggwanga lino.

Chris Evans eyakuyimbira ennyimba ezenjawulo omuli Bwolonda, Ow’ekisa, Kankole Byenkola, Rihanna n’endala agambye nti abayimbi naddala abakyali abato basukiridde okukoopa ennyimba era y’emu ku nsonga lwaki teziwangala.

Mungeri y’emu alabudde bapulodyusa okutandiika okuyiiya ebipya okusinga okukoopa kuba kigenda kusanyawo ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.

Chris Evans agamba singa abayimbi ne bapulodyusa tebakomya kukoopa ennyimba, abayimbi abagwira bagenda kweyongera okuwamba Uganda.

“The Uganda music industry after a decade will b meaningless, pple will not b minding about Ugandan artists coz the international artists will hv taken over. Most artists r doing a lot of copy and paste. Producers r using d same pages and samples for difrent songs. Now most new kids on d block r surviviving on copied beats from d international market coz ennyonyi enkulu yeeyigiriza ento okubuuka. Songs no longer last long coz they r not new in d fans’ ears. Well in d short run we r benefiting but later we shall b forgotten. Mweddeko”.

Bino agenze okubyogera nga mu Uganda, mwana mulenzi Fik Fameica y’omu ku bayimbi abakoopa ennyimba era kigambibwa nti ennyimba ze zonna omuli Kutama, Byenyenya, Pistol n’endala zonna yazikopa.