Bannayuganda bawukanye mu ndowoozo ku bigambo ebyayogeddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okomyawo akalabba.

Oluvanyuma lw’ettemu okweyongera mu gwanga Pulezidenti Museveni yavudde mu mbeera, nategeezanga bw’agenda okuddamu okuwanika abasibe ku kalabba naddala abo abali ku misango gy’okutta abantu.

Pulezidenti agamba nti obuguminkiriza bumuweddeko wadde nga ediiniye tekiriza kalabba wadde okutta omuntu yenna.

Bino okubyogera, yabadde ku mukolo nga ekitongole ky’amakkomera ekya Poliisi kifulumya abasirikale abasuuka mu 900, abatendekebwa okumala omwaka mulamba e Luzira olunnaku olw’eggulo.

Ku nsonga eyo, abamu ku bannayuganda bakiwagidde kuba kigenda kuyambako, okutangira obuzzi bw’emisango n’okusingira ddala abatta abantu.