Bya Steven Kyeyune Mu nsi yonna abasajja baagala nnyo omukyala alabika obulungi era y’emu ku nsonga lwaki abaana abawala balina okwekolako buli lunnaku okufuna abasajja abayinza okubagambako. Embeera eyo, etuukiridde bulungi nnyo ku mwana muwala Anita Fabiola era abasajja bangi abayiika endusu nga bamulabyeko. Okusinzira ku bagoberezi be ku mikutu egy’enjawulo okuli Instagram, Twitter n’okusingira ddala Face Book, buli kifaananyi kye, abasajja basolobeza era bangi bawanjaga nga basaba ebintu. Abamu bagamba nti Fabiola talimu kirwadde kyonna kuba omwana asukiridde okunyirira n’okusabalaza waaya zabwe. Abalala bagamba nti singa akiriza okubawa ku bintu, tebayinza kwambala kondomu kuba tebalina budde bulinda ate ayinza n’okwekuba.