Sipiika wa Palamenti Rebbecca Alitwala Kadaga mwenyamivvu olw’ebbula ly’omusaayi eririwo kati mu ggwanga lino Uganda.

Sipiika Kadaga agamba nti embeera eri mu ggwanga, Palamenti etekeddwa okulooza ennyo okufulumya ssente okuzimba awakunganyizibwa omusaayi mu disitulikiti zonna mu ggwanga okusinga okuba n’ekifo ekimu mu Kampala.

Kadaga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Palamenti agambye nti bagenda kweyambisa sabiti enamba okuva 21 – 25, Janwali, 2018 mu wiiki abantu gye bakyalira Palamenti (Parliament Week) abantu okugaba omusaayi, okutaasa abantu abagwetaaga.