Abantu basatu bebakwatiddwa olunnaku olw’eggulo mu kikwekweeto ekyakoleddwa amagye mu bitundu by’e Kabowa.

 

Abakwatiddwa beekuusa ku ttemu eryakolwa ku Francis Ekalungar eyali mubazi w’ebitabo by’edwaliro lya Case Clinic mu Kampala ng’omulambo gwe, gwazuulwa ku kkubo mu bitundu bye Ntebbe nga gwokeddwa.

Abakwatiddwa kuliko Kandi Muhindo ne Fagil Muwendo nga bannansi ba Congo ne Muzamir Mawa nga basangiddwa ne motooka y’omugenzi nga bakyusiza e namba okuva ku UAW 899U okudda UAT 764L.

Ebikwekweeto, by’amagye, byatandika sabiti ewedde ku lunnaku olwokutaano era ssenkulu wa Boda boda 2010, Abdallah Kitatta naye yakwatiddwa.

Omugenzi Francis Ekalungar
Omugenzi Francis Ekalungar

Wabula abavuzi ba bodaboda ab’egatira mu kibiina kya Centery Boda boda Cooperative society bali mukusagambiza olw’okukwatibwa kwa Kitata.

Aba Century bagamba nti Kitatta ne banne babadde basusse okubalabya ennaku omuli n’okubatuusaako ebisago ebyamaanyi ddala n’okubalemesa okutambuza emirimu gyabwe.