Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni olunnaku olw’eggulo aguddewo olukungana lw’abalamuzi olwa makumi 20, wansi w’omulamwa esigga eddamuzi okukwatila wamu okuletawo enkulakulana,

Olukungana luno nga luberawo buli mwaka era lwettabiddwamu abalamuzi mu okuvira ddala kubatuula ku kkooti y’okuntiko, Kkooti enkulu, ejjulirwamu n’ettaputa semateeka. 

Bwe yabadde ayogerako eri abalamuzi, ssabalamuzi Bart Katureebe attegezeza nga bo mu kitongole ekiramuzi bwebasabodde okuwulira emisango 175,000 ejjibadde gyeetumye mu mwaka gwa 2017 gwoka

Ono wabula attegezeza nga essiga eddamuzi bweryetaga ensimbi nga kwotadde n’omuwendo gwa balamuzi okubasobozesa okukola bulungi omulimu gwabwe.

Bannamateeka
Bannamateeka

Ate Pulezidenti Museveni yasuubiza nti agenda kuteeka omukono ku biwandiko ebiwanika abantu ku Kalabba kuba abantu basukiridde okutwalira amateeka mu ngalo omuli okutta, okubba, okukwata abakyala n’abaana n’emisango emirala.

Mukulu Museveni agamba nti abantu abamu okutibwa ku kalabba, kiyinza okuyamba bannayuganda abamu okutya okuddamu okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.