Ebbula ly’emirimu y’emu ku nsonga lwaki, abakyala begumbulidde okwetunda okufuna ensimbi okwebezaawo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Mu bitundu bya Kampala wali mu Kisenyi okwetunda buli lunnaku kweyongedde, omuli n’abawala abato okuva, ku myaka 15.
Abakyala banno, abetunda bakozesa ebigambo ebiwooma, okusikiriza bakasitoma omuli Uncle money, Uncle ndiwano, Daddy, mukwano, Kasitoma omulungi, omuli n’okwambala obugoye bukokoonyo okwolesa byebatunda.

100.2 Galaxy Fm, eyogeddeko n’abakyala abatunda omukwano era bangi bagamba nti obwavu y’emu ku nsonga lwaki betunda okufuna ensimbi ate abalala bagamba nti balina obuvunanyizibwa bungi nnyo omuli okupangisa ennyumba, okusomesa abaana n’okufuna eky’okulya.
Mungeri y’emu bagambye nti wadde balina okunoonya ssente, abasajja basukiridde okwagala ebyobwerere omuli okwagala okubatugga nga balidde ebintu byabwe.