Kampuni ekamula y’ebyokunywa esinga obunene mu ggwanga lino Uganda eya Coco Cola enkya ya leero etongoza eky’okunywa ekipya ku mukolo ogubadde ku kitebe kyabwe Namanve.
Eky’okunywa kino, kitumiddwa Fuze Tea era kyakutundibwa mu mawanga agasuuka 50 kyoka mu East Africa kisokedde mu Uganda.
Mu kutoongoza eky’okunywa ekyo, Magie Kigozi omu ku bakitunzi ba Coco Cola, agambye nti Fuze Tea akoleddwa mu bitundu bingi ddala omuli ekisubi, amazzi, Appo era kigenda kuyamba abantu bonna abali ku mirimu gyabwe.
Fuze Tea atereddwa ku ccupa ya 400Ml ku shs 2,000.