Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era omuyima wa Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero, asubirwa okuletebwa mu kkooti y’amaggye, enkulu e Makindye okusomerwa emisango egimuvunanibwa.
Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebata, John Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja okusangibwa n’ebyokulwanyisa by’amaggye omuli engoye z’amaggye, emmundu, amasasi, Pisito n’ebintu ebirala.
Banno sabiti ewedde, baletebwa mu kkooti y’amaggye esokerwako e Mbuya, eyabasindika mu kkooti y’amaggye enkulu, oluvanyuma lw’oludda oluwaabi, okomekereza okunoonyereza ne bafuna obujjulizi bwona obuyinza okulumika abantu abbo.
Kitatta ne banne bakwatibwa mu kikwekweeto ekyakolebwa amaggye okukwata abantu bonna abalina akakwate ku nfa ya Francis Ekalugar eyali omubazi w’ebitabo by’eddwaliro lya Case Clinic mu Kampala, eyattibwa, omulambo gwe ne gookebwa mu bitundu bye Ntebbe.