Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era omuyima wa Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta asindikiddwa ku Limanda mu kkomera Luzira okutuusa nga 27, Febwali, 2018.
Kitatta aleteddwa wakati mu byokwerinda okuva mu kitongole ky’amaggye.
Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebata, John Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja era basimiddwa mu kkooti ekulembeddwamu ssentebbe waayo Lt. Gen. Andrew Gutti era basomeddwa emisango 6 okuli omusangibwa n’ebintu by’amaggye omuli emmundu, Pisito amasasi 30, okusangibwa ne sitoowa y’ebintu ebyo ebyokulwanyisa n’emisango emirala.
Kitatta ne banne begaanye emisango gyona kiwaliriza omulamuzi okubasindiika ku Limanda e Luzira.
Mungeri y’emu bawakanyiza eky’okusimbibwa mu kkooti y’amaggye ate ng’abbo bantu babuligyo.