Mu Uganda abantu bangi nnyo batya okutandiika emirimu era bangi balemeddwa okukyusa embeera zabwe kuba batya buli mbeera.
Okusinzira ku bantu abenjawulo abasobodde okufuna ku nsimbi, omuntu yenna alina okulowooza nnyo ku ngeri gy’ayinza okufuna ensimbi mu ngeri ezenjawulo.
Obadde okimanyi nti abantu bangi nnyo batya okutandiika emirimu, era bangi balowooza singa batandiika ensimbi zabwe zigenda kuffa?, embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki Dr Innocent Nahabwe avuddeyo okuyamba abantu bonna abatya okutandiika omulimu gwona.
Dr Nahabwe asobodde okutandiika emirimu mingi ddala mu ggwanga lino omuli 100.2 Galaxy Fm e Kansanga, Kagwirawo Sports Betting – Instant Bet, Instant Cash, Club Amnesia n’ebintu ebirala mingi ddala ate alina abakozi bangi ddala abasuuka mu 100.

Dr Innocent Nahabwe
Dr Innocent Nahabwe

Dr Innocent Nahabwe bwe yabadde awayamu naffe yasobodde okuwa ensonga mpitirivu nnyo lwaki abantu bangi bayinza okutya okutandiika omulimu gwona.
1 – OKUTANDIIKA. Dr Nahabwe agamba nti omuntu yenna yandibadde avaamu okutya kuba singa takikola, ayinza okulemererwa okukola omulimu gwona. Agamba omuntu yenna singa atandiika, bingi byasobola okuyiga omuli entambuza y’omulimu, okusomozebwa, okutegeera engeri gye bakwatamu bakasitoma, okufuna emikwano n’ebintu ebirala.
B2C mu kirabu Amnesia
B2C mu kirabu Amnesia

2 – BIZINENSI EYINZA OKUSANAWO. Dr Nahabwe agamba nti wadde abantu bangi bakola bizinensi nezigwa, tekirina kutiisa kuba omulimu singa gugwawo, kisobola okuyamba okufuna eky’okuyiga n’okusala amagezi engeri gy’oyinza okuddamu okutambuza emirimu.

3 – OKUVUMBULA ENSOBI. Singa omuntu yenna alemwa okutandiika okukola, tayinza kuvumbula nsobi yonna, Dr Nahabwe agamba nti okutandiika okukola kiyamba okutegeera entambuza y’omulimu gwo ngeri gy’oyinza okutetenkanyaamu bizinensi.
4 – ENDOWOOZA. Dr Nahabwe agamba nti buli muntu yenna ayagala okutandiika omulimu, ateekeddwa okuba n’ebirowoozo nti omulimu gugenda kukola ssente (Profit) kuba singa alowooza nti gugenda kumusala (Loss), tayinza kutandiika olw’okutya.

5 – OKUNOONYEREEZA. Abantu abamu batandiika omulimu lwakuba mukwano gwe agutandise oba waliwo omuntu agukola, Dr Nahabwe agamba nti sikirungi kulabira ku munno wabula otekeddwa okunoonyereeza. Ku nsonga eyo awadde eky’okulabirako omuli okulambula ekifo wosuubira okuteeka omulimu, okwebuuza ku bantu abali mulimu gw’oyagala okutandiika, okwekeneenya ku bantu abayinza okugula ebintu n’ensonga endala.