Olunnaku olwaleero mu nsi yonna lunnaku lwa baagalana era bangi bagenda ku lweyambisa okwogera ku nsonga z’omukwano gwabwe.
Buli 14, Febwali, lunnaku lwa “Valentine’s Day” era bangi ku bali mukwano balwesunga nnyo.
Wabula engeri y’okulombojja omukwano mu kisenge kiyamba nnyo okuwangaza omukwano kuba ebisooko binyumisa nnyo akaboozi.

Mu kisenge, bibiina byotalina kubuusa maaso
1 – Weewale okumala googera gagambo agatali ku mulamwa, munno bijja kumutama. Londa ebigambo ebitaamukange naye nga bimunyumira.
2 – Fuba okulaba ng’engeri gy’olombojjamu ekwatagana n’ebigenda mu maaso nga muli mu kisenge.
3 – Kozesa ebigambo ebyongera okussa munno mu muudu okugeza Mukwano, Kabiite, bbebi n’ebirala.
4 – Manya eddoboozi ettuufu ery’okukozesa mu kifo ekituufu. Mu kisenge, eddoboozi kikulu nnyo okunyumisa akaboozi n’kuwa munno amannyi.
5 – Ebikolwa. Kirungi oyogere ng’ogoberezaako ebikolwa nga bw’okakasa munno bw’omutegekedde eby’enjawulo kuba kiyamba okulwa mu kisaaawe.
6 – Okuwaana. Munno muwaane nga bw’omukakasa nti obeera omuyoyaayoya. Oyinza okwogera ku bintu ebiri ku mubiri gwe nti bikolera nnyo mu mukwano gwamwe.