Minister w’ebyamateeka Gen Kahinda Otafiire aboggoledde omuduumizi wa Poliisi Gen Kale Kayihura ne minisita w’ebyobutebenkevu mu ggwanga Gen. Henry Tumukunde bakomye okunenengaana kubaanga bibaswaaza eri bannayuganda.
Minisita bw’abadde yakava mu akakiiko, akalondoola ensonga z’eddembe ly’obuntu agambye nti ebikolebwa abakulu bbo, biswaza ekibiina kyabwe n’obukulembeze bwabwe.
Mungeri y’emu abotodde ekyama nti ye yalina obutakanya n’eyaliko Kattikiro wa Uganda, John Patrick Amama Mbabazi kyoka ensonga zabwe, zakolebwako nga teziri mu mawulire.