Okuwuliriza emisango egivunanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende ASP Muhammad Kirumira giddamu enkya ya leero wali mu kkooti ya Poliisi e Naguru.
Kirumira avunanibwa emisango mingi ddala omuli okulya enguzi, okufuna ssente mu lukujukuju n’okutambuza emirimu gye mu ngeri emenya amateeka.
Kinajjukirwa sabiti eno ku lunnaku Olwokubiri, okuwuliriza emisango gya Kirumira tekwaliyo okutuusa olunnaku olwaleero olwa kkooti obutatuula.
Kigambibwa ssentebbe wa kkooti Denis Odongpiny n’olukiiko lwe balina emirimu emirala gye bali bateekeddwa okwasaganya.