Minisita w’ensonga z’amateeka mu ggwanga lino Major General Kahinda Otafiire ayagala ekkomera lye Luzira likyusibwe lizzibwe mu kifo ekinene webayinza okusibira abasibe abawerako.

Ekkomera lye Luzira
Ekkomera lye Luzira

Minisita Otafiire bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu akakubirizibwa Jovah Kamateeka yagambye nti abantu beyongedde mu ggwanga lino ate ekkomera ly’e Luzira we lyazimbibwa nga Bannayuganda bakyali batono nnyo.
Mungeri y’emu yagambye nti n’omuwendo gw’abantu abazza emisango gweyongedde ekiraga nti ekkomera lye Luzira teriyinza kumala bantu bonna.
Gye buvuddeko waaliwo entegeka z’okuggyawo ekkomera lino ekifo kiweebwe nnagagga okuzimbawo amakolero oba ekintu ekirala ekikulaakulanya eggwanga kyokka ng’abakiwakanya bagamba nti Luzira kifo kya byafaayo ekitasaanye kumala gaggyibwawo mu ggwanga Uganda.
Ekkomera lye Luzira
Ekkomera lye Luzira

Minisita Otafire agamba nti okusengula ekkomera okulitwala mu kifo ekigazi wamu n’okuzimba amakomera amalala kye kijja okumalawo omujjuzo.