Kyaddaki omukwano wakati w’omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa ennyo nga Bryan White n’omuyimbi Weasel Manizo guzzemu okuyinda.

Sabiti eno, ka vidiyo kafuluma nga Bryan White alina engeri gye yayitamu Weasel ng’omwana omuto era bannayuganda abamu banyiiga ekyawaliriza manejja wa Goodlyfe Chagga okutegeeza nti bayimiriza enkolagana yabwe n’omugagga Bryan White era Weasel tagenda kuddamu kuwagira ekibiina ekyatondeddwawo okuyamba abantu ekya Bryan White Foundation.
Manejja Chagga era yategeeza nti Weasel agenda mu ggwanga erya America okuwumula okusinga Bryan White okutyobola ekitiibwa kye.
Wabula ebintu bikyuuse, Omugagga Bryan White yasobodde okutuula n’omuyimbi Weasel ne bagonjoola ensonga era omuyimbi Weasel akiriza okuddamu okolagana ne Bryan White mu ngeri yonna.
Weasel yetondedde abawagizi ku mbeera eyabaddewo