Bya Kabula Robert

Bannakibiina kya Democratic Party (DP) benyamivu nnyo olwa Minisita omubeezi ku by’ettaka Persis Namuganza okulumbagana abantu abenjawulo ng’abayisaamu amaaso kuba alabika asussizza w’alina okukoma.

Fred Mwesigwa
Fred Mwesigwa

Aba DP nga bakulembeddwamu omuwandiisi wa Pulezidenti ku nsonga z’amawulire Fred Mwesigwa, Minisita Namuganza yayisizaamu nnyo amasso Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope IV okuvaayo okulagira abantu mu bitundu bye Bukono, ekitundu Namuganza kyakikirira ng’omubaka wa Palamenti okukuba Kyabazinga singa agenda mu kitundu kyabwe.

Mwesigwa agamba nti wadde Minisita Namuganza ayongedde okulaga nti wa mutwe munene, essaawa yonna okuva kati, Kyabazinga agenda kukyalako mu bitundu bye Bukono era besuunze Minisita Namuganza okunga abantu be okugyayo amayinja, emiggo n’ebijambiya okumukuba.

Rebecca Alitwala Kadaga
Rebecca Alitwala Kadaga

Mmwesigwa bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku woofisi za DP mu Kampala ku City House agambye nti Minisita Namuganza ayongedde okuyisaamu abantu abenjawulo olugaayu omuli minisita w’ebyassaayansi ne tekinologiya Aidah Nantaba, minisita w’ebyattaka Betty Amongi, ennaku zino ali ku sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga, ekiraga nti Namuganza alina ekimansulo ky’omumwa.

Aba DP bagamba Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yasobola okuyamba okuwa Namuganza obwa minisita kuba yaggwa ebigezo era abakulu mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) nga bakulembeddwamu ssentebbe w’ekibiina Museveni balina okuvaayo okubulirira Namuganza okweddako kuba empisa ze embi zikyuma.

Mungeri bawanjagidde Pulezidenti Museveni okunoonyereza nnyo ku bantu bonna bagenda okuwa obwa minisita okusobola okuggyamu abalina empisa ensiwuufu.

Fred Mwesigwa agamba ku lwa DP alabudde Minisita Namuganza okwesonyiwa ensonga za Busonga kuba mu kiseera kino ayongedde okuswaza buli muntu yenna ava mu kitundu ekyo omuli okutyoboola ekitiibwa kya Kyabazinga era singa takikomya, ayolekedde okufa ng’embwa.

Obutakkaanya bwa Namuganza ne Kadaga bwatandika oluvannyuma lwa Kadaga okukuliramu omukolo gw’okutuuza Omulangira w’e Bukono nga February 26, 2018 ekintu Namuganza ky’awakanya mu kitundu kyabwe.

Embeera eno yawalirizza abayizi Abasoga abeegattira mu kibiina kya Basoga Nseete abasomera mu ttendekero lya Uganda Institute of Information and Communication Technology e Nakawa okusaba minisita w’ebyettaka Persis Namuganza aveeyo yeetondere Kyabazinga, Sipiika Rebecca Kadaga n’Obusoga bwonna kuba kiyinza okutabangula abantu bonna mu bitundu bya Busoga.

Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala agamba nti naye si mumativu ku nneeyisa ya Namuganza era yasazeewo okuyita olukiiko lwa Busoga basalire wamu amagezi.

Mungeri yasabye emikutu gy’abaawulire gyonna mu Busoga obutaddamu kuwa mwagaanya muntu yenna avumirira Kyabazinga Gabula kuba aliwo mu butuufu.