Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayuugumiza ebitundu bye Jinja akawungeenzi ka leero.

Bobi Wine agenze Jinja East okwegata ne banne ku ludda oluvuganya okunoonya akalulu ka munna FDC Paul Mwiru avuganya ku ky’omubaka wa Jinja East.

Kampeyini zikomekerezebwa olwaleero ate ku Lwokuna bagende balonde omubaka wabwe.

Paul Mwiru avuganya n’abantu 7 omuli Nathan Igeme Nabeta owa NRM.

Kkooti, yasazaamu okulondebwa kwa Nathan Igeme Nabeeta oluvanyuma lwa Paul Mwiru owa FDC okwekubira enduula mu kkoota ng’agamba yabibwa mu kolonda okwaliwo mu Febwali wa 2016.