Bya Nakaayi Rashidah

Poliisi y’e Makerere ekutte omuvubuka myaka 22 lwa kubba kompyuta 40 eza yunivasite.

Daniel Ogwal yakwatiddwa mu ekiro ekikeseza olwaleero olw’abakuumi okumusanga lubona mu kizimbe kya Kompyuta eri abayizi abasoma Computing and Information Sciences.

Okusinzira kw’akulira ebikwekweeto bya Poliisi ku yunivasite y’e Makerere, Jude Eliphaz Masingano, Ogwal akwatiddwa ne sipeeya wa Kompyuta gw’abadde asumuludde era mu kiseera kino ali mu kaduukulu kabwe ku yunivasite y’e Makerere.

Mungeri y’emu agambye nti okwatibwa kwe, Poliisi egenda kweyambisa, okuzuula akabinja ka babbi, abatigomya yunivasite nga batwala ebintu ebyenjawulo kuba kirabuka bonna baliko abayizi ku yunivasite.