Bya Kyeyune Steven Mirembe

Poliisi y’e Ibanda etandiise okunoonyereza ekiviriddeko omuvubuka myaka 24 okwetugira mu nnyumba mu tawuni y’e Ibanda.

Okusinzira ku Poliisi, omugenzi ategerekese nga Wiling Tugume, okwetta yalese ekiwandiiko ekikambwe nga kiwandiikiddwa mu Runyakole ekiraga nti yazaalibwa 1994, afudde 2018, omutuuze ku kyalo Kageti mu disitulikiti y’e Kiruhura, ate kitaawe ye Fred Rwabusyagari.

Tugume kati omugenzi okwetta, yabadde akyalidde ku mukwano gwe, apangisa ku nju z’omugagga Ssenyondo Busingye ku kyalo Bufunda mu goombolola y’e Ibanda.

Kigambibwa, yalabiriza mukwano gwe ng’atambuddemu neyeetuga.

Ku nsonga eyo, Susan Tumugumye akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Ibanda, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu Ruhooko okwekebejjebwa abasawo nga Poliisi bw’egenda mu maaso n’okunoonyereza.