Muhammad Kirumira
Muhammad Kirumira

Kyaddaki owa poliisi Muhammad Kirumira eyeegulira erinnya bwe yafuuza n’akwata ababbi e Nansana ayogedde ebyama lwaki yasalawo okuwumulamu emirimu gya Poliisi.

Kirumira abadde aduumira Poliisi y’e Buyende kyoka ku ntandikwa y’omwaka 2018, yalangirira nti awumudde emirimu gya Poliisi kuba embeera eri mu kitongole ekyo eyongedde okumulemesa okutambuza emirimu.

Omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi
Omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi

Bwe yabadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi olunnaku olw’eggulo e Lwengo yagambye nti Poliisi erimu abantu abakyamu bangi nnyo era y’emu ku nsonga lwaki yayitibwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okwasa ebyama.

Mungeri y’emu agambye nti enkyukakyuka ezikoleddwa mu kitongole kya Poliisi zigenda kuyamba nnyo okugyamu abantu abakyamu nga n’okwata kwa Abdul Kitatta owa 2010 yali emu ku nsonga gyeyasaba Pulezidenti Museveni.

Kirumira agamba nti ebigenda mu maaso ye musingi era bangi bagenda ku kwatibwa kuba abantu bangi nnyo abakyamu abali mu Poliisi era okufa kwa Kaweesi kugenda kuyamba nnyo okukwata abantu bonna abakyamu kuba yafirira ebintu bingi nnyo ebikyamu ebitanamanyika.