Bya Zainab Ali

Kkooti y’amaggye e Makindye erangiridde nga 23, April, 2018, okutandiika okuwuliriza emisango egivunanibwa Ssentebbe wa NRM e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta ne banne.

Kkooti okulangirira, kiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj Raphael Mugisha okutegeza ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti nti bbo bakomekereza okunoonyereza kwabwe era kkooti yesigadde, okutekawo olunnaku, okutandiika okulumiriza abavunanibwa.

Ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Gutti, alagidde Kitatta okumuzaayo ku limanda mu kkomera ly’amaggye e Makindye ne banne mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 23, April, 2018, oludda oluwaabi lusobole okutandiika okusabukulula obujjulizi.

Kitatta nga buligyo mu kkooti, agidde mu T-shirt eya kyevu wakati mu kuyimba ennyimba eziwana ekibiina kya NRM, nti NRM oyeee era wakati mu byokwerinda.

Kitatta ku kkooti e Makindye
Kitatta ku kkooti e Makindye

Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebata, John Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebintu by’amaggye omuli ebyambalo n’engatto, okusangibwa ne sitoowa y’ebintu y’ebyokulwanyisa n’emisango emirala.

Kitatta yakwatibwa mu Janwali ne banne aba bodaboda 2010 mu kikwekweeto eky’amaggye oluvanyuma lw’okukwata muganda we Huzairu Kiwalabye ku bigambibwa nti yalina omukono ku nfa ya Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo bya Case hospital mu Kampala era omulambo gwe gwasangibwa nga gwokeddwa ebbali w’ekkubo mu bitundu bye Kajjansi, Entebbe.