Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alagidde Minisitule y’ebyobulamu, bagule obugaali bu maanyi ga kifuba 5000 eri abakulembeze ku magombolola basobole okutambula ebitundu byabwe okwekeneenya, engabanya y’obutimba bw’ensiri.

Okugaba obutimba bw'ensiri mu Kampala
Okugaba obutimba bw’ensiri mu Kampala

Museveni agamba nti abakulembeze ku magombolola okulawuna ebyalo, kigenda kuyamba nnyo Gavumenti okuzuula oba kaweefube gw’eriko, asobola okuyamba okulwanyisa omusujja gw’ensiri oba tekigenda kuyamba.

Mungeri y’emu agambye nti bangi ku bannayuganda abaafuna obutimba ne badda mu bukozesa ebyabwe, kyoka okulambula kigenda kuyamba nnyo okuzuula oba ddala abatuuze basobodde okweyambisa obutimba obwo mu ngeri entuufu.

Bino okubyogera, yabadde mu kisaawe kye Sheema ku ddimu ly’okomekereza okugaba obutimba bw’ensiri mu kitundu ekyo.