Abassomesa ku yunivasite y’e Makerere abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Makerere University Academic Staff Association- MUASA bagamba nti okwejjalabya y’emu ku nsonga lwaki, abakulira yunivasite, balangiridde okwejjako obuvunanyizibwa eri abayizi abassoma akawungeezi.

Abassomesa banno nga bakulembeddwamu ssentebbe w’ekibiina kyabwe Dr. Deus Muhwezi Kamunyu, bagamba nti enkyukakyuka zonna ezigenda mu maaso ku yunivasite bbo ng’abassomesa tebanaba kumanyisibwa mu butongole.

Mungeri y’emu bagambye nti okwejjalabya omuli okutambula okutayamba, kiremeseza abakulu okuteeka ssente wezirina okuyambira yunivasite omuli okwongeza abassomesa omusaala, okwongera amannyi mu kunoonyereza n’okutekawo embeera abayizi gye bayinza okweyagaliramu.

Dr. Kamunyu agamba nti abaana abasoma akawungeezi okubaza ku ngeri ya kolegi (College) nga bwe kyalangiriddwa amyuka Chansala Prof. Barnabas Nawangwe, abassomesa bonna abagenda okukiteeka mu nkola, babadde balina okumanyisibwa ne basobola okwetekateeka.

Prof. Barnabas Nawangwe
Prof. Barnabas Nawangwe

Ate omu ku bayizi abasoma obussomesa ku yunivasite y’e Makerere ng’ali mu mwaka gwe ogwokusatu, Emmanuel Asiimwe, agambye nti ekyasaliddwawo abakulira yunivasite, kigenda kunyigiriza abaana n’okutataganya ensoma yabwe.