Wadde ng’abakyala bangi nnyo abalina ekitone era abasobola okuyimba ennyimba ezenjawulo, kyoka batono nnyo abasobola okweyambisa emibiri gyabwe okukyamusa abantu nga beyambisa okuzina.

Wabula omuyimbi Cindy Sanyu ye wanjawulo nnyo kuba asobola okuzina n’okuyimba era y’omu kwabo abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.

Cindy Sanyu
Cindy Sanyu

Cindy alina kavidiyo ku Face Book nga yabadde yeetegekera okugenda mu ggwanga erya Rwanda mu Kibuga Kigali, kyoka yasobodde okwolesa ebintu.

Abamu ku bagoberezi be bagambye nti Cindy asukiridde okunafuya waaya zabwe kuba azina kokoonyo, abalala bagamba nti yegumbulidde okwambala ffeesi y’ekiwaani kuba yekolako nnyo kyoka bonna bakiriza nti alabika ategeera ensonga z’omukwano.