Poliisi y’e Kakumiro ekutte omusajja myaka 51 lwa kutta mukyala we.

Omusajja mutuuze ku kyalo Tuhumwire mu muluka gwe Kikoora mu goombolola y’e Kakindo era kigambibwa yatta kabite we Rosemary Mukabirako myaka 40 ku ssaawa 5 ez’ekiro mu kiro ky’olunnaku olwa Mmande sabiti eno nga 19, March, 2018.

Okusinzira kw’aduumira Poliisi y’e Kakumiro DPC Hassan Mugerwa, okunoonyereza okusokerwako kulaga nti omusajja yakwata oluku olukalu, namukuba ku mutwe, ekyavirako okuffa kwe oluvanyuma lw’okuyombagana.

Kigambibwa omusajja yali alumiriza mukyala we okugaanza abasajja abenjawulo mu kitundu kyabwe.