Abatuuze ku kyalo Kabuyanda mu goombolola y’e Kikwaya mu Disitulikiti y’e Kakumiro baguddemu ekikangabwa enkya ya leero olwa mutuuze munaabwe omukyala okuttibwa mu ntiisa ate abadde lubuto ng’ng’asemberedde okuzaala.

Providence Asiimwe, 31 abadde mukyala wa Francis Habiyaremye era kigambibwa nti atemuddwa mu bukambwe muggya we.

Omwami Habiyaremye agambye nti omugenzi era mukyala we Asiimwe abadde alina obutakanya ne muggya we kyoka abadde asuubirwa okuzaala abalongo essaawa yonna.

Asiimwe attiddwa nga beyambisa ejjambiya era omulambo gwe gusangiddwa mu mu kitaba ky’omusaayi ng’omubiri gwona gujjudde ebiwundu.

Omutemu olumaliriza okutta Asiimwe, ejjambiya agisudde mu nsiko, nadukira ku Kikwaya Police post okweropa era oluvanyuma bamugyewo ne bamutwala ku Poliisi y’e Kakumiro police station ng’okunoonyereza we kugenda mu maaso.

Kigambibwa omugenzi ne bba bannansi ba Rwanda era ssentebbe w’ekyalo John Kyamanywa agamba nti emisango okweyongera mu kitundu kyabwe kivudde ku bakulembeza okulemererwa okunoonyereza ku bantu abasenze mu kitundu kyabwe.