Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Wilson Masalu Musene alagidde oludda oluwaabi mu musango oguvunaanibwa abantu 19 abakwatibwa ne bagulwako ogw’okulya munsi olukwe, okugulwawo.

Omulamuzi Musene, agamba nti akooye eby’oludda oluwaabi nga lukulemberwa omuwaabi wa Gavumenti Racheal Bikhole, okusaba okubongera obudde buli kiseera omusango ne gwongezebwaayo nga bekwaasa obusongasonga obutaliimu nti bakyanonyereza.

Kinnajjukirwa nti sabiiti ewedde, waliwo omujjulizi gwe baleeta, eyalemwa okuwa obujjulizi bwe yategeeza nti alumbiddwa embiro kkooti n’etawulira bujulizi bwe.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, omusango tegwawuliddwa nga kivudde ku ludda oluwaabi okusaba omulamuzi okubongera obudde basobole okwebuuza ku Ssaabawaabi wa Gavumenti oba abantu abakwatibwa bagibwako emisango.

Omulamuzi yasobodde okuwuliriza oludda oluwaabi era yalangiridde nga 23, March, 2018 okusobola okuwa ensala ye oba abantu bonna abakwatibwa balina emisango oba nedda.

Abavunaanibwa kuliko Aisha Nakasibante, Hakim Kinene Muswaswa, Muzamilu Kasawuli, Arafat Serunjoji, Alex Okot, Olanya Joseph, Okidi Charles ne Arajab Mubaje amanyikiddwa nga Magombe Sulaiman.

Abalala kuliko Matanda Issa, Haji Byamukama Abdul Ratif, Asadu Ssemwogerere, Solomon Kibirige, Wadwali Safiyi, Yusuf Sentamu, Muhamad Kolodo, Ismail Ssentogo ne Abonga Nick Frank.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti abakwatibwa n’abalala abakyanonyezebwa wakati wa 2013 ne 2015, mu bitundu okuli Uganda, Dubai, Kenya ne Tanzania, balina omupango okuvunika Gavumenti ya Uganda.