Omuyimbi Spice Diana ayuugumiza kirabu Amnesia mu kiro ekikeseza olwaleero mu kivvulu kya Cumpus Night buli lwa Lwakuna.

Spice y’omu ku bakyala abaliko kati mu kisaawe ky’okuyimba era y’omu ku bawala abato abalina ekitone ky’okuyimba.

Spice Diana mu kirabu Amnesia
Spice Diana mu kirabu Amnesia

Olunnaku olw’eggulo, Amnesia yakutte akati era abadigize banyumiddwa ennyo emiziki gya Spice kuba bambi alina ennyimba enungi.

Spice Diana mu kirabu Amnesia
Spice Diana mu kirabu Amnesia

Mu kirabu yakubye ennyimba mpitirivu nnyo omuli Anti Kale, Tokombako, Akagaali, Thirty Twon (32) n’endala.

Buli Lwakuna, kirabu Amnesia mu Kampala ereeta abayimbi abenjawulo okusanyusa abantu era bano bayingirira bwereere.