Poliisi ewaliriziddwa okweyambisa omukka ogubalagala n’amasasi mu banga mu bayizi ku yunivaasite y’e Makerere, okubagumbulula abakedde okwetekateeka okwekalakasa nga bawakanya ebiteeso ebigendereddwamu okubanyigiriza.

Abayizi bawakanya ekya bakulira yunivaasite okutekateeka okuggyawo okusoma kwa kawungeezi, okomya okufumbira abaana nga buli muyizi ali ku sikaala ya gavumenti, agenda kuweebwa ensimbi ze shs 4,000 buli lunnaku okufuna eky’okulya okuli ekyenkya, ekyemisana n’ekyegulo.

Papa Were Salim
Papa Were Salim

Kigambibwa akulembera abayizi ku yunivaasite eyo (Guild President) Papa Were Salim akwattiddwa.

Lindirira ebisingawo….