Poliisi mu Kampala ekutte omukyala eyabadde yewambye yekka asobole okuwudiisa muganzi we okumugyako ssente.

Mariam Uwase myaka 21 yakwattiddwa era okusinzira ku Poliisi, yewambye okutisatiisa muganzi we nti singa tawaayo ssente obukadde 25, agenda kuttibwa.

Kigambibwa omukyala Uwase yasobodde okweyambisa tekinologye okukyusakyusa eddoboozi lye ku ssiimu nga singa akubira muganzi we, tasobola kumutegeera wadde okumutebereza.

Poliisi egamba muganzi we, olw’okutya okungi yasobodde okudukira ku Poliisi y’e Lugala okuyambibwa kyoka yabadde amazze okusindiika emitwalo 70 eri abantu abagambibwa okuwamba mukyala we.

Amangu ddala Poliisi ya Kampala mukadde yasobodde okuyingira mu nsonga era omukyala Uwase yasangiddwa mu kizimbe ekimu mu Kampala ngali ku mirimu gye.

Yakwattiddwa era mu kiseera kino ali ku Poliisi ya Kampala mukadde era aguddwako emisango egyenjawulo omuli okuwa amawulire amakyamu.

Omukyala Uwase mu kwewozaako agambye nti yabadde awudiisa muganzi we okugyako ensimbi okusindira abaana be kuba muganzi we ayagala nnyo okulya ebintu bye kyoka tayagala kumuwa ssente.