Bya Nalule Aminah

Kampuni ya Pepsi mu Uganda enkya ya leero etongozza kampeyini ya biriyooni 3 etumiddwa “Twangula with Pepsi” egendereddwamu okudiza ku bakasitoma nga bawangula ebintu ebyenjawulo omuli Emmotoka, Pikipiki, Ttiivi, Ssente, Airtime, T-shirts n’ebirabo ebirala.

Kampeyini y’abantu okuwangula yakulungula emyeezi esatu (3) okuva 16th, April okutuusa 16th, July, 2018.

Akulira bakitunzi mu Pepsi, Brandon Ssemanda agambye nti kampeyini y’okudiza ku bantu yekulembeddemu ebikujjuko by’okuweza emyaka 25 bukya batandika okutunda eby’okunywa bya Pepsi mu Uganda.

Mungeri y’emu agambye nti buli muntu yenna agenda okwetaba ku kazannyo muwanguzi kuba balina ebirabo bingi ddala ebitegekeddwa okugabwa, okwebaza bakasitoma abasobodde okuwagira Pepsi mu myaka 25.

Kasitoma yenna okuwangula ateekeddwa okugula soda eccuupa ya Pepsi, Mirinda oba Mountain Dew, ekirabo kiterekeddwa wansi we chokolo era okukifuna, olina okugeenda ku Dipo ya Pepsi yonna okumpi n’ekitundu ekyo.

Mungeri y’emu Kasitoma yenna oyinza okusindiika enamba (code) gy’osanze wansi wa chokolo ku 7888 okutangaza emikisa gy’okuwangula Emmotoka, Pikipiki ne Ttiivi.

Akalulu bagenda kalaga butereevu ku ttiivi ezenjawulo okuli NTV, Spark ne Bukedde 1 buli lwa Ssande okuva ssaawa 12 okutuusa ssaawa 1 ezakawungeezi okuva 29th, April, 2018.

Mirinda, Pepsi, Mountain Dew ali mu ggwanga lyona era owa 300ml wa shs 1000.

Omu kwabo abawangudde
Omu kwabo abawangudde

Olunnaku olwaleero, abamu ku bawanguzi bafunye ebirabo byabwe ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Pepsi e Nakawa omuli Airtime, T-shirts ne Ttiivi.