Abayizi abali ku sikaala ya Gavumenti ku yunivaasite y’e Kyambogo balayidde okusimbira ekkuli eky’okubawa shs 4,000, ez’okulya buli lunnaku.

Gye buvuddeko, abakulembeze ku lukiiko olufuzi olwa yunivaasite y’e Kyambogo, bakiriziganya buli mwana aweebwe ensimbi ze, Gavumenti zeebawa okufuna eky’okulya okuli ekyenkya, ekyemisana n’ekyegulo ku shs 4000.

Wabula akulembeze abayizi ku yunivaasite eyo (Guild President) German Amanya, agambye nti abayizi sibetegefu kukiriza kuweebwa shs 4,000 kuba teziyinza kumala muyizi yenna olunnaku lulamba.

Mungeri y’emu Amanya agambye nti yunivaasite erina okufumbira abaana eky’okulya kuba singa baweebwa shs 4,000 bangi nnyo bagenda kunyigirizibwa.

Prof. Elly Katunguka
Prof. Elly Katunguka

Ku nsonga eyo, amyuka Chansala ku yunivaasite y’e Kyambogo Prof. Elly Katunguka alabudde abayizi abali ku sikaala ya Gavumenti okeendeza omudomo n’okusala puleesa kuba ensimbi ze bageende okubawa ne Gavumenti zeebawa okulya buli lunnaku.