Poliisi y’e Kagadi ekutte ab’oluganda babiri (2) ku by’okubba embizzi olunnaku olw’eggulo ku Ssande.

Abakwattiddwa kuliko Karoli Ssebugwawo ne Joseph Ssebugwawo nga bonna batuuze ku kyalo Kyomukama.

Okusinzira ku Poliisi, ab’oluganda babbye embizzi ku mutuuze Patu Tinkamanyire era basaangiddwa nga bamaze okubaaga, beswata kuwuuta ssupu.

Akulira Poliisi y’e Kagadi Peter Aimai agambye nti ab’oluganda babalina mu kaduukulu kabwe era Poliisi etandiise okunoonyereza.
Ebifaananyi bya New Vision