Poliisi ekutte abasajja bataano (5) ku by’okuwamba omwana myaka 2 n’ekitundu mu bitundu bye Kiteezi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, abasajja basaangiddwa mu nnyumba emu n’omwana, nga batekateeka okusaba ssente okuva mu bazadde.

Kayima era agambye nti omwana Calvin Nakitende amangu ddala ng’atwaliddwa, abazadde nga nabbo batuuze b’e Kiteezi, bategeeza Poliisi okutuusa omwana lwe yazuliddwa ng’ali n’abasajja.

Mu Uganda okuwamba abantu kweyongedde, era Poliisi erabudde abatuuze mu ggwanga lyona okwegendereza abantu abakyamu abenyigidde mu kikolwa ekyo.