Gavumenti mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo egobye abalamuzi 250 ng’abamu lwa butabeera na biwandiiko byabuyigirize ate abalala lwa kulya nguzi.

Minisita w’ensonga z’amateeka Alexis Thambwe Mwamba agambye nti “Pulezidenti w’eggwanga Joseph Kabila y’akulembeddemu okuyimiriza abalamuzi nga kikoleddwa okulongoosa ekitongole ekiramuzi”.

Joseph Kabila
Joseph Kabila

Wabula okusinzira ku mpapula z’amawulire mu ggwanga eryo “abalamuzi 256 bayimiriziddwa oba bagobeddwa, babiri (2) balekulidde ate abalala basabye okuwumuzibwa.

Abamu ku bannansi bagamba nti abalamuzi abakulembeddemu abantu okuwakanya obukulembeze bwa Kabira bonna bagobeddwa.

Joseph Kabila myaka 46 yazaalibwa June 4, 1971, akulembedde Congo okuva January 2001.

Kabira yatuula mu ntebbe ng’omukulembeze w’eggwanga eryo nga kitaawe Laurent-Désiré Kabila attiddwa era y’omu ku bakulembeze mu Africa abasomerako ku yunivaasite y’e Makerere.

Bannansi bagamba nti ekisanja kye kyaggwako dda mu 2016 kyoka alemeseza okutekawo okulonda, Congo okufuna omukulembeze omuggya.