Kkooti ya poliisi ekwasisa empisa ku kitebe kya poliisi e Naggulu enkya ya leero esuubirwa okuwa ensala yaayo ku misango egivunaanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira.

 

Kirumira amangu ddala ng’alangiridde nti akyuse emirimu gya Poliisi olw’embeera emulemesa okutambuza emirimu gye mu Janwali wa 2018, oluvanyuma yakwattibwa okuva mu maka ge mu bitundu bye Bulenga kyoka wadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti, yavunanibwa emisango mingi ddala.

 

Ku misango emingi egyamugulwako mwe mwali n’okubba Chapati y’amaggi (Rolex) oluvanyuma gwe yawangula.

 

Mu kiseera kino alina emisango mingi ddala omuli okweyambisa mu bukyamu woofiisi ye, okulya enguzi n’emisango emirala.

 

Kkooti ya Poliisi ng’ekulembeddwamu ssentebbe waayo, Dennis Odongpiny, balangirira olunnaku olwaleero okuwa ensala yaabwe, oluvanyuma lw’okwongezaayo emirundi egiwera.