Bya Nalule Aminah

Eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira atabukidde ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero bwatuuse okugenda mu kkooti ya poliisi ekwasisa empisa ku kitebe ekyo nga bannamawulire bagaaniddwa okuyingira mmunda.

Kirumira agambye nti tewali muntu yenna ayinza kulemesa bannamawulire kutegeeza ggwanga ebigenda mu maaso mu kkooti okuleka nga balina kye bakweeka era simwetegefu kulinya mukaguli nga bannamawulire baganiddwa.

Kinnajjukirwa Kirumira amangu ddala ng’alangiridde nti akyuse emirimu gya Poliisi olw’embeera emulemesa okutambuza emirimu gye mu Janwali wa 2018, oluvanyuma yakwattibwa okuva mu maka ge mu bitundu bye Bulenga kyoka wadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti, yavunanibwa emisango mingi ddala.

Ku misango emingi egyamugulwako mwe mwali n’okubba Chapati y’amaggi (Rolex) oluvanyuma gwe yawangula.

Mu kiseera kino alina emisango mingi ddala omuli okweyambisa mu bukyamu woofiisi ye, okulya enguzi n’emisango emirala.

Kkooti ya Poliisi ng’ekulembeddwamu ssentebbe waayo, Dennis Odongpiny, balangirira olunnaku olwaleero okuwa ensala yaabwe, oluvanyuma lw’okwongezaayo emirundi egiwera.