Bya Nalule Aminah

Bannamawulire baganiddwa okuyingira kkooti ya Poliisi enkya ya leero ku kitebe kya Poliisi e Naguru okuwuliriza n’okwekeneenya ensala y’emisango egivunanibwa eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira.

Abasirikale ba Poliisi ab’ekibinja ekirwanyisa obutujju (Counterterrorism police) bayiriddwa mu bungi e Naguru ku mulyango oguyingira munda  okulemesa munnamawulire yenna okuyingira.

Abasirikale ba Poliisi
Abasirikale ba Poliisi

Omu ku basirikale agambye nti bafunye ebiragiro okuva eri ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga, Okoth Ochola obutakiriza munnamawulire yenna okuyingira mmunda kuba emisango gya Kirumira gya kkooti ya poliisi ekwasisa empisa.

Emilian Kayima
Emilian Kayima

Mungeri y’emu n’omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agambye nti ku nsonga za Kirumira, basabiddwa obutakiriza munnamawulire yenna kuyingira mu kkooti.

Kirumira avunanibwa emisango egisuuka mu 8 omuli okweyambisa mu bukyamu woofiisi ye, okulya enguzi n’emisango emirala.

Kinnajjukirwa ku lunnaku Olwokubiri sabiti eno, Kirumira yagyeema okulinya mu kkooti ya Poliisi olwa bannamawulire okubasibira ebweru, okubalemesa okuyingira munda.

Enkya ya leero mu kkooti, Kirumira akiriza okuyingira era akulembeddwamu Assistant Commissioner of Police, Sam Omala eyamweyimirira.

Muhammad Kirumira ne Sam Omala
Muhammad Kirumira ne Sam Omala

Kinnajjukirwa Kirumira amangu ddala ng’alangiridde nti akyuse emirimu gya Poliisi olw’embeera emulemesa okutambuza emirimu gye mu Janwali wa 2018, oluvanyuma yakwattibwa okuva mu maka ge mu bitundu bye Bulenga kyoka wadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti, akyawerenemba n’emisango gye.