Bannayuganda abasuuka mu 16 bebakafiira mu mawanga agenjawulo gye baddukira okunoonya ssente ate bangi nnyo bali mu mbeera mbi.

Ekyama kino kyogeddwa akakiiko ka Palamenti akalondoola ensonga z’ebyokwerinda ng’ababaka mu kakiiko ako, basobodde okulambula amawanga agenjawulo kyoka mu ggwanga erya lya United Arab Emirates bangi nnyo ku bannayuganda batundibwa ng’abaddu.

Ababaka, bategezeza nti bannayuganda abageenda ku kyeyo bwe batulugunyizibwa, nga waliwo abasalawo okwetuga mu Abu dhabi n’eggwanga lya Oman.

Mungeri y’emu balambuludde nti kibuga Abu Dhabi, waliyo akatale bannayuganda, gye babatundira okutambuza emirimu gyabwe ng’abaddu.

Bino okubyogera, basinzidde mu Palamenti nga batadde ku nninga abakungu ba minisitule y’ebyokwerinda n’ensonga ez’omunda, okutangaza eggwanga lwaki bakiriza embeera eyo bannayuganda okunyigirizibwa.

Muwanga Kivumbi
Muwanga Kivumbi

Omubaka Muwanga Kivumbi ow’e Butambula omu ku babaka abalambula amawanga agenjawulo agambye nti bannayuganda bangi bakakibwa omukwano era Gavumenti erina okuvaayo bunnambiro okutakiriza embeera eyo.

Mu Uganda ebbula ly’emirimu lyeyongedde era y’emu kum nsonga lwaki abavubuka bangi mu ggwanga lino baduukidde ebweru w’eggwanga ku kyeyo kyoba bangi nnyo bawangalira mu maziga