Kyaddaki omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nnyo nga Bryan White alabudde abayimbi nti okwogerwako tekirina kubalemesa kuyiiya nnyimba kuba bannayuganda bagala muziki ssi bigambo.

Bryan White agamba nti abayimbi bonna mu Uganda balina obusobozi obuyimba ennyimba enungi nnyo kyoka ebirowoozo ebisusse byebisinga okubalemesa okuyiiya ennyimba ezagalwa abantu.

Mungeri y’emu agambye nti abakozi be omuli abayimbi ne bannakatemba mu Bryan White Foundation bageenda kutandiika okufuna omusaala.

Abamu ku bayimbi abali mu Bryan White Foundation mulimu Weasel Manizo, Dj Michael, Ssanyu Cindy n’abalala ne bannakatemba omuli Madrat ne Chiko, Alex Muhangi era asuubiza nti buli muntu yenna mu kibiina kye, alina okumuzimbira amaka amalungi, okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi, okulya ku ssente zaabwe n’okutumbula ekitone kyabwe.

Omugagga Bryan White okulaga nti musajja mulungi, asobodde okukwasa omuyimbi Dj Michael kaadi y’emmotoka ekika kya Benz gye yamugulidde.

Bw’abadde ayogerako eri abakozi be bonna agambye nti alina okukola kyona ekisoboka okukyusa obulamu bw’abakozi be.