Omugagga Kalungi Kirumira Moses amanyikiddwa nga Billgates alumbaganye mugagga munne Brian Kirumira amanyikiddwa nnyo nga Bryan White ku ngeri  gy’asaasaanyamu ensimbi mu ggwanga lino.

Kalungi Kirumira Moses
Kalungi Kirumira Moses

Billgates agamba nti mu Uganda abantu bangi nnyo abali mu mbeera embi nga betaaga obuyambi omuli bakateyamba, bamulekwa, abalwadde okuyamba abavubuka okutandiika emirimu n’okuyamba abantu abalina embaga.

Mungeri y’emu agambye nti omuntu yenna okumansamansa ensimbi, kabonero akalaga nti ssente ezo tazikoleredde wabula okuziteeba.

Omugagga Billgates agamba nti omuntu yenna ng’alina ssente, ateekeddwa okuba n’ebizimbe mu ggwanga, kampuni, ffaamu z’enimiro.