Omuze gw’abasomesa okugaanza abayizi ku mattendekero agawagulu kweyongedde mu Africa ekittattana ebyenjigiriza.

Mu Uganda n’okusingira ddala ku yunivaasite y’e Makerere, abasomesa begumbulidde okwagala abayizi nga basuubiza okubawa makisi ez’obwereere basobole okuyita ebigezo n’okutikirwa era abantu bangi ddala bavuddeyo okuvumirira ekikolwa ekyo era abasomesa abamu babayimiriza ku mirimu gyabwe.

Embeera eyo, mu ggwanga erya Nigeria omusomesa omulala ayimiriziddwa ku mirimu gye okumala ebanga eri tali gere ku by’okusaba omuyizi omukwano asobole okufuna makisi ez’obwereere, basobole okumutikira.

Omusomesa Polof Richard Akindele asomesa bya bizinensi, yasindikidde omu ku muyizi edoobozi ku ssimu, ng’amusubiza okumuwa makizi singa akiriza okwegadaanga naye emirundi 5 gyoka.

Polof Richard Akindele
Polof Richard Akindele

Wabula abakulu mu yunivaasite amanyikiddwa nga Obafemi Awolowo University (OAU) mu ssaaza lya Osun bafunye edoobozi ng’omusomesa wabwe alemeddeko ayagala mukwano, omuyizi okusobola okuyita ebigezo.

Mu kiseera kino, akakiiko katekeddwawo okunoonyereza ku Polof Akindele era alagiddwa okuddako ebbali.