Omuyimba Pallaso Mayanja ayongedde okulaga nti mu Uganda y’omu ku bayimbi abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba wadde abamu ku bannayuganda tebanamatira bulungi.

Pallaso alina ennyimba mpitirivu nnyo omuli Twatoba, Tinkuula, Mundongo, Mukyakale, Wololo, Nyola, Very Sorry, Mama Bulamu, Enyama n’endala, ekimufudde omuyimbi owenjawulo mu ggwanga lino.

Mu kiro ekikeseza olwa leero, Pallaso abadde ku kirabu Amnesia mu Kampala era asobodde okuyimba ennyimba ze zonna, ekiwadde abadigize essannyu.

Mu badigize era abawagizi ba Pallaso, mubaddemu mwana muwala asobodde okunywesa Pallaso amazzi agokumukumu.

Omuwala asembedde mu maaso g’omuyimbi Pallaso okuzina ‘sikwizi’ kyoka abadde ogonda n’akkirako eryenvu, akiridde wansi mpolampola kyoka Pallaso alemereddwa okutuuka wansi.

Mu Kampala, Kirabu Amnesia ky’ekifo ekisanyukirwamu ekiwa abadigize essannyu n’okweyagala kuba abayimbi bakafuula maka gabwe nga buli lunnaku balina okubaayo.

Mungeri y’emu eby’okunywa bya layisi nnyo era y’emu ku nsonga lwaki buli lunnaku abadigize babeera bangi nnyo.