Poliisi e Masaka etandiise okunoonyereza ku bantu abenyigidde mu kutta eyali akulira abasomesa ku Kabaale Primary School e Lwanda mu disitulikiti y’e Rakai.

Sulaina Najjaggwe, 62 abadde omutuuze ku kyalo Luseese  mu goombolola y’e Nabigasa, yasangiddwa mu buliri ng’atugiddwa mu bukambwe olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku makya.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Luseese era neyiba w’omugeenzi Badru Bukenya, abatemu kirabika babadde bayingidde dda mu nnyumba nga bekwese wansi w’obuliri ne bavaayo ekiro ne bamutuga.

Ssentebbe Bukenya agamba nti bawulidde endulu ng’omuzukulu myaka 12 asaba obuyambi oluvanyuma lw’okuwulira abantu abatambulira mu nnyumba nga bakutte ttiivi bagenda.

Ssemaka Najjaggwe yasangiddwa ng’ali mu mbeera mbi olw’okutugibwa abatemu era yafudde nga yakatusibwa mu ddwaliro.

Mu kiseera kino Poliisi eyungudde basajja baayo okutandiika okunoonyereza.