Omuyimbi wa Kadongokamu Sir Mathias Walukagga atabukidde Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi okulemberamu okwonoona erinnya lye eri abawagizi be.

Walukagga okuva mu mbeera, kidiridde Minisita Nakiwala okuvaayo okusuubiza okulemberamu okunoonyereza taata w’omwana omutuufu ku mwana akayanirwa.

Kinnajjukirwa nti ku ntandikwa ya sabiti eno, omuwala Aisha Namugerwa nga mu kiseera kino abeera ne nnyina Sauda Kabasoga e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende yavaayo n’alumiriza Walukagga okumufunyisa olubuto mu kiseera we yali akolera mu maka ge ng’omukozi (House Girl), agasangibwa ku kyalo Maya ku lw’e Masaka.

Omuwala Namugerwa anyonyola nti mu kiseera we yakolera ewa Walukagga, mukyala we Mariam yali avuddewo era yakozesa embeera eno okumukaka omukwano n’amufunyisa olubuto kyoka mu kiseera kino, omwana omwegaana.

Mungeri y’emu omuwala agamba nti bwe  yamaliriza okuzaala, yakubira omuyimbi Walukaga essimu okumutegeeza.

“Walukaga yasindika ssente emitwalo 3 n’asaba muweereze ku kifaananyi ky’omwana nange kye nakola kyokka okuddamu okwogera nange yaddamu kimu nti, ye tazaala baana ba mitwe minene era omwana ssiwuwe”, Omuwala Namugerwa bwanyonyola.

Minisita Nakiwala
Minisita Nakiwala

Wabula Minisita Nakiwala oluvanyuma olw’okufuna okwemulugunya kw’omuwala ku mikutu egyenjawulo, yategeezezza nti tayinza kuleka Namugerwa n’omwana we kubonaabona nga Walukagga ayogerwako waali, kwe kulagira be kikwatako mu minisitule ye okuli ne bannamateeka okutandika okukola ku nsonga za Walukagga.

Nakiwala yategeezezza nga bw’agenda okugenda e Mubende okulaba embeera Namugerwa gy’ayitamu ne bebbi we bwe kiba kyetaagisa okuggyayo bebbi okufuna amaka agalabirira abaana we baba bamuteeka era n’asuubiza okutwala Walukaga ku DNA okwekebejja endaga butonde wakati we n’omwana.

Wabula Walukagga agamba nti, ensonga zino zirimu abantu abagenderera okumwonoonera erinnya nga bayita mu kumulaga ng’omusajja omulagajjavu, atalina buvunaanyizibwa mu ggwanga lino.

Walukagga agamba nti naye yebuuza lwaki Twaha Mawanda gwe yali abeera naye awaka, eyakkirizza okuganza omuwala oyo n’okumufunyisa olubuto ye tebamuteekako maanyi.

Mungeri y’emu agamba nti ensonga zonna azirekedde Katonda kuba yasiinga byona.

Mu Uganda, Walukagga amanyikiddwa ennyo olw’ennyimba ze Bakoowu, Parliament Yaffe, Amannya Ga Kabaka, Ndikibuulira Ani Mama Watali, Sorry Mama n’endala.