Kyaddaki omuyimbi Angella Katatumba avuddeyo ku bigambibwa nti ali mu mukwano n’omuyimbi Kuzi Kz okuva mu ggwanga erya Jamaica.

Katatumba ne Kuzi Kz balabiddwako emirundi mingi ddala nga bali bombi era kigambibwa nti bali mukwano wadde berimbika nti bakola ku bya muziki.

Katatumba ne Kuzi Kz
Katatumba ne Kuzi Kz

Wabula Katatumba agambye nti Kuzi Kz mukwano gwe nnyo nnyo kuba bombi bayimba bulungi ate baludde nga bakola bonna okutumbula muziki wabwe wabula tebali mu laavu.

Abantu okugamba nti Katatumba ne Kuzi Kz baagalana, kidiridde ka vidiyo okufulumizibwa nga bali bombi nga bakola effujjo ku Chicken Tonight ettabi lye Muyenga ekyavirako Katatumba okukubwa eriiso.